ATUMIKA n'Amaanyi ag'Obulamu

by Dr. Bhuka B.M. Bijumiro-Jjumiro
Atumika kye kitabo ekinnyonnyola ebimu ku Byama Ebikusike ebyakwekebwa mu bigambo ebya bulijjo abantu abatonde aboogera olulimi luno bye twogera kumpi buli lunaku kyokka bye tutafangako kulowooza nnyo kwetegereza na kutegereza makulu n'Obugagga obubirimu. Bhuka Bijumiro-Jjumiro mu kukung'aanya ebigambo bino n'okubinnyonnyola amakulu agabirimu, agaabikwekebwamu, agaabisibirwamu n'agaabiterekebwamu akoze omulimu munene okwongera okwoleka obugagga bw'Olulimi luno eri abalwogera n'eri abo abaliruyiga mu mirembe enkumi egijja. Ekitabo kino kyoleka nti Olulimi luno wamma ddala lwe lumu ku nnimi enkusikire ddala olutegeerwa abo bokka abamaze okutendekebwa ne babangulwa mu Byama by'Ennono z'Obutangaavu.
About the Author
Dr. Bhuka B.M. Bijumiro-Jjumiro yazaalibwa Katiko-Nnaama, Mityana- Mubende, Uganda. Yasomera Nnaama UMEA ne Kassanda UMEA gye yava mu 1968 n'agenda mu Old Kampala S.S.School gye yafunira Cambridge University School Certificate "O" Level mu 1972. Mu 2001 yafuna degree y'obwa Dokitaari mu Metaphysics. Awandiise ebitabo bingi mu Lungereza ne mu Lulimi luno.
(2007, paperback, 323 pages)
Accessories
![ATUMIKA n'Amaanyi ag'Obulamu [E-book edition] ATUMIKA n'Amaanyi ag'Obulamu [E-book edition]](http://us.st12.yimg.com/us.st.yimg.com/I/yhst-17523450422633_2013_263095) | ATUMIKA n'Amaanyi ag'Obulamu [E-book edition] This book is also available for download as an E-Book in Adobe Acrobat (.pdf) format. Get the same great book to read on your computer or PDA! It's less expensive and it saves paper! NOTE: In order to view this e-book, your computer will need the Adobe Acrobat Reader installed. Many computers are sold with the program already installed, but if you don't have it, you can download it for free: CLICK HERE$23.00 |
|